Ezekiel 42:11 — Compare Translations
5 translations compared side by side
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
n'ekkuubo mu maaso gaabyo. Byali bifaanagana n'ebigango eby'emambuka. Byalina obuwanvu bwe bumu n'obugazi; nga birina emiryango egifuluma n'ebipimo ebifaanagana,
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Waaliwo olukuubo wakati w’ennyumba zombi. Zaafaanana ng’ennyumba ez’oku luuyi olw’Obukiikakkono, ng’obuwanvu n’obugazi bwazo, n’emiryango nga bya bipimo ebyenkanankana n’eby’Obukiikakkono.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
N'ekkubo eryali mu maaso gaago lyali ng'enfaanana ey'ekkubo ery'amayu agayolekera obukiikakkono, ng'obuwanvu bwago, n'obugazi bwago bwe bwali bwe butyo, n'awafulumirwa mu go wonna waali ng'engeri zaago bwe zaali era ng'enzigi zaago bwe zaali.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Mu maaso gaabwo waaliwo, olukuubo ng'olwali mu maaso g'obusenge obutunudde ebukiikakkono. Obuwanvu n'obugazi bwalwo, emiryango n'enzigi awafulumirwa, byali bye bimu ddala nga bwe byali
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
N'ekkubo eryali mu maaso gaago yali ng'enfaanana ey'ekkubo ery'amayu agayolekera obukiika obwa kkono; ng'obuwanvu bwago, n'obugazi bwago bwe bwali bwe butyo: n'awafulumirwa mu go wonna waali ng'engeri zaago bwe zaali era ng'ezigi zaago bwe zaali.