Ezekiel 42:12 — Compare Translations

5 translations compared side by side

Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
n'emiryango egy'emambuka gyali gifaanagana n'emiryango gy'ebigango by'emaserengeta. Waaliwo omulyango ekkuubo we litandikira, eryali ligenda ligoba obutereevu ekisenge ekidda ebugwanjuba. Mu guno we waayingirirwanga mu bigango.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Emiryango gy’ebisenge eby’Obukiikaddyo gyali gifaanana n’emiryango gy’ebisenge eby’Obukiikakkono. Ekizimbe kyaliko omuzigo ogwolekedde Obukiikaddyo, nga bw’oguyingiriramu oyolekera emiryango gy’ennyumba ennene ey’ekizimbe. Waaliwo omulyango omulala ku luuyi olw’ebuvanjuba olukuubo lw’ekizimbe eky’ennyumba zombi we lukoma.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Era ng'enzigi ez'amayu agayolekera obukiikaddyo bwe zaali, oluggi bwe lwali bwe lutyo ekkubo we lisibuka eriri ddala mu bwenyi bw'ekisenge ebuvanjuba bw'oyingira mu go.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
ebukiikaddyo. Era olukuubo we lutandikira mu maaso g'ekisenge eky'ebweru ng'ova ebuvanjuba, waaliwo oluggi.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Era ng'enzigi ez'amayu agayolekera obukiika obwa ddyo bwe zaali, oluggi bwe lwali bwe lutyo ekkubo we lisibuka eriri ddala mu bwenyi bw'ekisenge ebuvanjuba bw'oyingira mu go.