Ezekiel 42:13 — Compare Translations
5 translations compared side by side
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Awo n'agamba nti: “Ebigango eby'emambuka n'ebigango eby'emaserengeta ebiri mu maaso g'oluggya lw'Ekiggwa, ebyo bigango bya bakabona, abo abasemberera Omukama, gye banaaliiranga ebiweerezebwa ebitukuvu ennyo; eyo gye banaateekanga ebitone ebitukuvu ennyo: ebitone eby'obuwunga, ebitone eby'ekitambiro olw'ekibi n'olw'ekitambiro olw'omusango, kubanga ekifo kitukuvu.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Awo n’aŋŋamba nti, “Ebisenge eby’ennyumba eyolekedde yeekaalu eby’omu Bukiikakkono n’eby’ennyumba eyolekedde yeekaalu eby’omu Bukiikaddyo, by’ebisenge bya bakabona. Bakabona abaweereza mu maaso ga Mukama gye banaaliiranga ebintu ebitukuvu ennyo; era eyo gye banaatekanga ebiweebwayo ebitukuvu ennyo, n’ekiweebwayo eky’obutta n’ebiweebwayo olw’ekibi, n’ebiweebwayo olw’omusango, kubanga ekifo kitukuvu.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Awo n'aŋŋamba nti Amayu ag'obukiikakkono n'amayu ag'obukiikaddyo agoolekedde ekifo ekyayawulibwa ago ge mayu amatukuvu, bakabona abali okumpi ne Mukama mwe banaaliiranga ebintu ebitukuvu ennyo, eyo gye banaateekanga ebintu ebitukuvu ennyo n'ekiweebwayo eky'obutta n'ekiweebwayo olw'ekibi n'ekiweebwayo olw'omusango; kubanga ekifo ekyo kitukuvu.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Awo omusajja n'aŋŋamba nti: “Amayumba ago gombi mu bukiikakkono, ne mu bukiikaddyo agatunudde mu luggya, mayumba matukuvu. Bakabona abatuuka awali Mukama, mu go mwe banaaliiranga ku bitukuvu ennyo ebimuwongerwa. Amayumba ago, kifo kitukuvu, era mwe banaaterekanga ebitukuvu ennyo, awamu n'ebiweebwayo eby'emmere ey'empeke, n'ebiweebwayo olw'ebibi, n'ebiweebwayo ng'omutango olw'omusango.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Awo n'aŋŋamba nti Amayu ag'obukiika obwa kkono n'amayu ag'obukiika obwa ddyo goolekedde ekifo ekyayawulibwa ago ge mayu amatukuvu, bakabona abali okumpi ne Mukama mwe banaaliiranga ebintu ebitukuvu ennyo: eyo gye banaateekanga ebintu ebitukuvu ennyo n'ekiweebwao eky'obutta n'ekiweebwayo olw'ebibi n'ekiweebwayo olw'omusango; kubanga ekifo ekyo kitukuvu.