Ezekiel 42:14 — Compare Translations

5 translations compared side by side

Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Bakabona bwe banaayingiranga mu kifo ekitukuvu, tebaafulumenga kujja mu luggya lw'ebweru, wabula nga bamaze okuggyako ebyambalo byabwe mwe baweerereza, kubanga bitukuvu; banaayambalanga ebyambalo ebirala, olwo ne balyoka balaga mu bifo awabeera abantu.”
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Bakabona bwe bayingirangamu, tebaafulumenga kulaga mu luggya olw’ebweru, okuggyako nga baggyemu ebyambalo eby’obuweereza bwabwe, kubanga byambalo bitukuvu. Banaayambalanga ebyambalo ebirala, ne balyoka basemberera ebifo awali abantu.”
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Bakabona bwe banaayingirangamu, kale tebavanga mu kifo ekitukuvu okuyingira mu luggya olw'ebweru, naye banaateekanga eyo ebyambalo byabwe bye baweererezaamu; kubanga bitukuvu; kale banaayambalanga ebyambalo ebirala, ne balyoka basemberera ekyo eky'abantu.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Bakabona bwe banaayingiranga mu Kifo Ekitukuvu, bwe banaabanga bakivaamu okuyingira mu luggya olw'ebweru, ebyambalo ebitukuvu bye babadde baweererezaamu, banaabirekanga mu busenge obwo, ne bambala engoye endala, ne balyoka basemberera ekifo abantu abalala mwe bakukuŋŋaanira.”
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Bakabona bwe banaayingirangamu, kale tebavanga mu kifo ekitukuvu okuyingira mu luggya olw'ebweru, naye banaateekanga eyo ebyambalo byabwe bye baweereezaamu; kubanga bitukuvu; kale anaayambalanga ebyambalo ebirala, ne balyoka basemberera ekyo eky'abantu.