Ezekiel 42:15 — Compare Translations
5 translations compared side by side
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Bwe yamala ebipimo by'oluggya olw'omunda w'Ekiggwa, n'anfulumya ng'ampisa mu kkubo ery'omulyango ogw'ebuvanjuba; nayo n'apimayo okwetooloola wonna.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Bwe yamala okupima munda wa yeekaalu, n’ankulembera n’ampisa mu mulyango ogw’Ebuvanjuba, n’apima ekitundu ekyetoolodde wonna.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Awo bwe yamala okugera ennyumba ey'omunda, n'anfulumya mu kkubo ery'omulyango ogutunuulira obuvanjuba, n'agigera enjuyi zonna.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Bwe yamala okupima munda w'Essinzizo, n'anfulumya ng'ayita mu mulyango ogw'ebuvanjuba, n'alyoka alipima ebweru enjuyi zonna.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Awo bwe yamala okugera ennyumba ey'omunda, n'anfulumya mu kkubo ery'omulyango ogutunuulira obuvanjuba, n'agigera enjuyi zonna.