Ezekiel 42:3 — Compare Translations
5 translations compared side by side
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Awo we kitunuuliridde mu miryango gy'oluggya olw'omunda era ne we kitunuuliridde mu mwaliro gw'amayinja ogw'oluggya olw'ebweru, nga waliwo ebbalaza etunudde mu bbalaza ku buli myaliiro esatu.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Ekizimbe ekyo kyalina ennyumba bbiri. Ennyumba emu yali eyolekera oluggya olw’omunda oluli mita kkumi obugazi. Ennyumba endala n’eyolekera oluggya olw’ebweru. Ennyumba zombi zazimbibwa nga za kalina ssatu, nga zoolekaganye.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Okwolekera emikono abiri (20) giri egy'oluggya olw'omunda n'okwolekera amayinja amaaliire gali ag'omu luggya olw'ebweru we waali olubalaza okwolekera olubalaza lunnaalwo mu nju eya waggulu ey'okusatu.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Ku ludda olumu, yali etunudde mu luggya lw'Essinzizo olwomunda, olwa mita ekkumi obugazi. Ku ludda olulala, yali eyolekedde amayinja amaaliire ag'oluggya lw'Essinzizo olw'ebweru. Yali ezimbiddwa ku myaliiro esatu egya kalina, ng'ogwa wansi gwe gusinga obugazi gunnewaagwo ogwa waggulu.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Okwolekera emikono abiri giri egy'oluggya olw'omunda n'okwolekera amayinja amaaliire gali ag'omu luggya olw'ebweru we waali ebbalaza ng'eyolekera ebbalaza ginnaayo mu nju eya waggulu ey'okusatu.