Ezekiel 42:4 — Compare Translations

5 translations compared side by side

Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Ate mu maaso g'ebigango nga waliwo ekkuubo ery'omunda lya mikono kkumi obugazi n'emikono kikumi obuwanvu; emiryango gy'ebigango nga giri ku luuyi olw'emambuka.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Wakati w’ennyumba ezo ebbiri, waaliwo olukuubo mita ttaano obugazi, n’obuwanvu mita amakumi ataano. Enzigi ez’ennyumba eyolekera oluggya olw’omunda zaayolekera Obukiikakkono.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Ne mu maaso g'amayu gali waaliwo ekkubo obugazi bwalyo emikono kkumi munda (10), ekkubo lya mukono gumu; n'enzigi zaago zaayolekera obukiikakkono.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Mu nnyumba, mwalimu olukuubo lwa mita ttaano obugazi, ne mita amakumi ataano obuwanvu, nga n'emiryango gyolekedde obukiikakkono.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Ne mu maaso g'amayu gali waaliwo ekkubo obugazi bwalyo emikono kkumi munda, ekkubo lya mukono gumu; n'enzigi zaago zaayolekera obukiika obwa kkono.