Ezekiel 42:5 — Compare Translations
5 translations compared side by side
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Ebigango ebya waggulu byali bifundafunda kubanga ebbalaza zabifunzanga, nga bifunda okusinga eby'oku mwaliiro ogwa wansi ne mu makkati g'ekizimbe.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Ebisenge ebya waggulu byali bifunda okusinga ebibiri wansi, kubanga olubalaza olwa waggulu lwatwala ekifo kinene okusinga ku myaliiro egya wansi n’egya wakati mu kizimbe.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Ebisenge ebya waggulu byali bifunda okusinga ebya wansi, kubanga olubalaza olwa waggulu lwatwala ekifo kinene okusinga ku myaliiro egya wansi n'egya wakati mu nnyumba.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Obusenge obw'omu kalina eya waggulu, bwali bufunda okusinga obwa wansi waabwo, kubanga okuva wansi okudda waggulu, ebbalaza zaagendanga zeeyongera okugaziwa, n'okusala ku bugazi bw'obusenge ku buli kalina.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Era amayuuga waggulu gaali mampi okusinga ago: kubanga ebbalaza zaasala ku ago okusinga bwe zaasala ku za wansi n'eza wakati mu nnyumba.