Ezekiel 42:6 — Compare Translations

5 translations compared side by side

Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Ebigango byo byali bya myaliiro esatu; temwali mpagi ng'oluggya olw'ebweru ze lwalina. Ebigango ebya waggulu byali bifunda okusinga ebigango eby'oku ttaka ne ku mwaliiro ogwokubiri.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Oluggya lwalina empagi naye ebisenge ebyali ku mwaliiro ogwokusatu tebyalimu mpagi, noolwekyo byali bitono okusinga ebyali ku mwaliiro ogwa wansi ne ku mwaliiro ogwa wakati.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Oluggya lwalina empagi naye ebisenge ebyali ku mwaliiro ogwokusatu tebyalina mpagi, n'olwekyo byali bitono okusinga ebyali ku mwaliiro ogwa wansi ne ku mwaliiro ogwa wakati.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Obusenge obw'omu kalina zino, tebwalina mpagi zibuwanirira ng'ebisenge eby'omu bizimbe ebirala eby'omu luggya, akasenge aka waggulu kyekaavanga kafunzibwa okusinga kannewaako kwe kaazimbirwa ak'omu kalina eya wansi.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Kubanga gaali amayu aga waggulu asatu, so tegaalina mpagi ng'empagi ez'omu mpya: eya waggulu kyeyava efunzibwa okusinga eya wansi n'eya wakati okuva ku ttaka.