Ezekiel 42:8 — Compare Translations

5 translations compared side by side

Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Olukalala lw'ebigango ku luuyi olw'oluggya olw'ebweru nga lwa mikono amakumi ataano, ate olulala ku luuyi oluliraanye Ekiggwa lwali lwa mikono kikumi.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Olubu lw’ebisenge olw’ennyumba eri ku luuyi oluliraanye oluggya olw’ebweru obuwanvu bwali mita amakumi abiri mu ttaano, ate n’olubu lw’ebisenge olw’ennyumba ku luuyi olusinga okuliraana yeekaalu obuwanvu bwali mita amakumi ataano.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Kubanga obuwanvu bw'amayu agaali mu luggya olw'ebweru bwali emikono ataano (50) era, laba, mu maaso ga Yeekaalu waaliwo emikono kikumi (100).
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Obuwanvu bw'ennyumba ezaaliko obusenge mu luggya olw'ebweru, bwali mita abiri mu ttaano, ate obw'ezo ezaali mu maaso g'Essinzizo bwali mita amakumi ataano.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Kubanga obuwanvu bw'amayu agaali mu luggya lw'ebweru bwali emikono amakumi ataano: era, laba, mu maaso ga yeekaalu waaliwo emikono kikumi.