Ezekiel 43:10 — Compare Translations

5 translations compared side by side

Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
“Naye ggwe, mwana w'omuntu, ennyumba ya Yisirayeli ginnyonnyole Ekiggwa, bekkaanye ekifaananyi byakyo, baswale olw'ebibi byabwe.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
“Omwana w’omuntu, abantu ba Isirayiri bannyonnyole endabika ya yeekaalu, bakwatibwe ensonyi olw’ebibi byabwe.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
“Ggwe omwana w'omuntu, nnyonnyola ennyumba ya Isiraeri endabika ne ntegeka ya Yeekaalu, bakwatibwe ensonyi olw'obutali butuukirivu bwabwe.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Era n'aŋŋamba nti: “Ggwe omuntu, laga ab'Eggwanga lya Yisirayeli Essinzizo balabe, endabika n'entereeza yaalyo, balyoke bakwatibwe ensonyi olw'ebikolwa byabwe ebibi.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Ggwe omwana w'omuntu, laga ennyumba ya Isiraeri ennyumba, bakwatirwe ensonyi obutali butuukirivu bwabwe: era bagere ekyokulabirako.