Ezekiel 43:11 — Compare Translations

5 translations compared side by side

Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Ensonyi bwe ziriba zibakutte olw'ebyo byonna bye baakola, babuulire enfaanana y'Ekiggwa: entereeza yaakyo, emiryango gyakyo egifuluma, emiryango gyakyo egiyingira; bamanyise enfaanana yaakyo yonna n'amateeka gaakyo gonna, n'entereeza zaakyo zonna n'ebikiragiddwako byonna. Biwandiike nga balaba, balyoke bakuume enfaanana yaakyo n'amateeka gaakyo gonna; bino babituusenga.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Bwe balikwatirwa ensonyi olw’ebyo byonna bye baakola olibategeeza eyeekaalu bw’efaanana, okutegekebwa kwayo, awafulumirwa n’awayingirirwa, n’ekifaananyi kyayo yonna, era n’ebiragiro byamu n’amateeka gaamu. Obiwandiikire mu maaso gaabwe babeere beesigwa okukuuma ebiragiro byamu.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Awo bwe banaakwatibwa ensonyi olwa byonna bye bakoze, bategeeze Yeekaalu bw'efaanana n'engeri yaayo n'awafulumirwa n'awayingirirwa n'embala zaayo zonna n'ebiragiro byayo byonna n'amateeka gaayo gonna, ogiwandiike bo nga balaba, balyoke bagikwate yonna nga bw'efaanana n'ebiragiro byayo byonna, babikolenga.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Bwe banaakwatibwa ensonyi olwa byonna bye bakoze, obannyonnyole enkola y'Essinzizo n'enfaanana yaalyo, awayingirirwa n'awafulumirwa, n'ekifaananyi kyalyo kyonna, n'amateeka gonna n'ebiragiro byonna ebiriteekeddwako. Obibawandiikire byonna babirabe, balyoke bamanye Essinzizo lyonna nga bwe litegekeddwa, n'ebiragiro byalyo byonna, era babituukirizenga.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Awo bwe banaakwatirwa ensonyi ebyo byonna bye bakoze, bategeeze ennyumba bw'efaanana n'engeri yaayo n'awafulumirwa n'awayingirirwa n'embala zaayo zonna n'ebiragiro byayo byonna n'embala zaayo zonna n'amateeka gaayo gonna, ogiwandiike bo nga balaba: balyoke bagikwate yonna: nga bw'efaanana n'ebiragiro byayo byonna, babikolenga.