Ezekiel 43:15 — Compare Translations

5 translations compared side by side

Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Ekyoto kya mikono ena obusimba, ate okuva ku kyoto okutuuka waggulu ku mayembe ana agayimireddeko waliwo emikono ena.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Entobo ey’ekyoto eriba obugulumivu mita bbiri ne desimoolo asatu mu bbiri, n’okuva ku ntobo ey’ekyoto okwambuka waliba amayembe ana.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
N'ekyoto ekya waggulu kiriba kya mikono ena, n'okuva ku kyoto wansi n'okwambukayo waliba amayembe ana.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Ekitundu kino eky'alutaari ekyawaggulu, kiriba kya mita bbiri obuwanvu. Okuva awo, alutaari eriba n'amayembe ana agambuka waggulu.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
N'ekyoto ekya waggulu kiriba kya mikono ena: n'okuva ku kyoto wansi n'okwambukayo waliba amayembe ana.