Ezekiel 43:16 — Compare Translations

5 translations compared side by side

Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Ekyoto kya njuyi nnya ezenkanankana: emikono kkumi n'ebiri obuwanvu ne kkumi n'ebiri obugazi.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Entobo ey’ekyoto eriba ya nsonda nnya, nga zenkanankana, obuwanvu mita mukaaga ne desimoolo kyenda mu mukaaga, n’obugazi mita mukaaga ne desimoolo kyenda mu mukaaga.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
N'ekyoto wansi kiriba emikono kkumi n'ebiri (12) obuwanvu, n'ekkumi n'ebiri (12) obugazi, enjuyi zaakyo ennya nga zenkanankana.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Ekitundu ky'alutaari ekisembayo waggulu, kiriba kyenkanankana ku njuyi zaakyo ennya, mita mukaaga mukaaga obuwanvu n'obugazi.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
N'ekyoto wansi kiriba emikono kkumi n'ebiri obuwanvu n'ekkumi n'ebiri obugazi, enjuyi zaakyo ennya nga zenkanankana.