Ezekiel 43:17 — Compare Translations
5 translations compared side by side
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Oluzizi olwa waggulu nalwo lwa njuyi ezenkanankana: emikono kkumi n'ena obuwanvu n'emikono kkumi n'ena obugazi, nga lwetooloddwa omugo gwa kitundu kya mukono n'omufulejje gwa mukono gumu. Amadaala agambuka ku mwaliiro gatunudde buvanjuba.”
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Omugo ogwa waggulu guliba gwa nsonda nnya ezenkanankana obuwanvu mita munaana ne desimoolo kkumi na bbiri n’obugazi mita munaana ne desimoolo kkumi na bbiri, n’omugo ogugwetooloola guliba obugazi sentimita amakumi abiri mu mwenda, n’entobo yaagwo eriba sentimita ataano mu munaana okugwetooloola. Amadaala ag’ekyoto galitunuulira Ebuvanjuba.”
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
N'omugo guliba emikono kkumi n'ena (14) obuwanvu, n'ekkumi n'ena (14) obugazi, mu njuyi zaagwo ennya; n'omugo ogugwetooloola guliba kitundu kya mukono; n'entobo yaagwo eriba omukono gumu enjuyi zonna; n'amadaala gaagwo galitunuulira ebuvanjuba.”
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Ekitundu ky'alutaari eky'omu masekkati, nakyo kiriba kyenkanankana ku njuyi zaakyo ennya, mita musanvu ku buli ludda, nga kirina omugo ogw'ebweru gwa sentimita amakumi abiri mu ttaano obugulumivu, nga lwo olusalosalo wansi ku ntobo, lwa sentimita amakumi ataano obugazi. Amadaala agambuka ku alutaari eyo, galiba ku ludda lwayo olw'ebuvanjuba.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
N'omugo guliba emikono kkumi n'ena obuwanvu n'ekkumi n'ena obugazi, mu njuyi zaagwo ennya; n'omugo ogugwetooloola guliba kitundu kya mukono; n'entobo yaagwo eriba omukono gumu enjuyi zonna; n'amadaala gaagwo galitunuulira obuvanjuba.