Ezekiel 43:18 — Compare Translations

5 translations compared side by side

Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
N'aŋŋamba nti: “Mwana w'omuntu, Omukama Katonda kino ky'agamba: Gano ge mateeka ku mwaliiro bwe guliba guwedde okuzimbibwa okuweererezaako ekitambiro ekyokye n'okumansirako omusaayi:
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
N’aŋŋamba nti, “Omwana w’omuntu, bw’ati bw’ayogera Mukama Katonda nti; Bino bye biriba ebiragiro bye munaagobereranga nga muwaayo ebiweebwayo ebyokebwa n’okumansira omusaayi ku Kyoto, nga kiwedde okuzimbibwa.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
N'aŋŋamba nti, “Omwana w'omuntu, bw'ati bw'ayogera Mukama Katonda nti, Bino bye biragiro eby'ekyoto ku lunaku lwe balikikola, okuweerangayo okwo ebiweebwayo ebyokebwa n'okumansirangako omusaayi.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Omusajja n'aŋŋamba nti: “Ggwe omuntu, Mukama Afugabyonna, agamba nti: ‘Bino bye biragiro ebirigobererwa, bwe balikola alutaari okuweerangayo ku yo ebiweebwayo ebyokebwa, n'okumansirangako omusaayi.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
N'aŋŋamba nti Omwana w'omuntu, bw'ati bw'ayogera Mukama Katonda nti Bino bye biragiro eby'ekyoto ku lunaku lwe balikikola, okuweerangayo, okwo ebiweebwayo ebyokebwa n'okumansirangako omusaayi.