Ezekiel 43:19 — Compare Translations

5 translations compared side by side

Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Bakabona Abaleevi abasibuka mu Zadoki abansemberera okumpeereza, Omukama Katonda y'agamba, olibawa ente ennume ento olw'ekitambiro olw'ekibi.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Muliwaayo ente ennume ento ng’ekiweebwayo olw’ekibi eri bakabona Abaleevi ab’ennyumba ya Zadooki, abampeereza bw’ayogera Mukama Katonda.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Bakabona, Abaleevi ab'oku zzadde lya Zadoki abandi okumpi, olibawa ente envubuka okuba ekiweebwayo olw'ekibi, okumpeereza, bw'ayogera Mukama Katonda.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Bakabona Abaleevi ab'omu zzadde lya Zaddooki abatuuka we ndi okumpeereza Nze Mukama Afugabyonna, olibawa ente envubuka, ebe ekiweebwayo olw'ebibi.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Bakabona, Abaleevi ab'oku zzadde lya Zadoki abandi okumpi, olibawa ente enwbuka okuba ekiweebwayo olw'ekibi, okumpeereza, bw'ayogera Mukama Katonda.