Ezekiel 43:2 — Compare Translations

5 translations compared side by side

Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
ne ndaba ekitiibwa kya Katonda wa Yisirayeli nga kijja kiva ebuvanjuba. Eddoboozi lye nga liri ng'okuyira okw'amazzi amangi, n'ensi ng'eyakaayakana olw'ekitiibwa kye.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
ne ndaba ekitiibwa kya Katonda wa Isirayiri nga kiva Ebuvanjuba, n’eddoboozi lye lyali ng’okuwuuma okw’amazzi amangi, n’ensi n’emasamasa olw’ekitiibwa kye.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Kale, laba, ekitiibwa kya Katonda wa Isiraeri nga kijja nga kiva mu kkubo ery'ebuvanjuba, n'eddoboozi lye lyali ng'okuwuuma kw'amazzi amangi, ensi n'emasamasa olw'ekitiibwa kye.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Ne ndaba ekitangaala ky'ekitiibwa kya Katonda wa Yisirayeli, ne nkiraba nga kijja nga kiva ebuvanjuba. Eddoboozi lya Katonda lyali ng'okuwuuma kw'amazzi amangi, ensi n'emasamasa olw'ekitiibwa kye.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
kale, laba, ekitiibwa kya Katonda wa Isiraeri nga kijja nga kiva mu kkubo ery'ebuvanjuba: n'eddoboozi lye lyali ng'okuwuuma kw'amazzi amangi: ensi n'emasamasa olw'ekitiibwa kye.