Ezekiel 43:24 — Compare Translations
5 translations compared side by side
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Olibiweereza mu maaso g'Omukama, ne bakabona balibimamirirako omunnyo ne babiweereza Omukama ng'ekitambiro ekyokye.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Mulizireeta mu maaso ga Mukama, bakabona ne bamansira omunnyo ku nnyama yaazo, ne baziwaayo ng’ebiweebwayo ebyokebwa eri Mukama.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
N'obisembeza mu maaso ga Mukama, bakabona ne bamansirako omunnyo ne babiwaayo okuba ekiweebwayo ekyokebwa eri Mukama.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
n'ozireeta mu maaso gange, Nze Mukama, bakabona ne bazimansaako omunnyo ne bazookya, zibe ekiweebwayo gye ndi Nze Mukama, ekyokebwa.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
N'obisembeza mu maaso ga Mukama, bakabona ne babisuulako omunnyo ne babiwaayo okuba ekiweebwayo ekyokebwa eri Mukama.