Ezekiel 43:25 — Compare Translations
5 translations compared side by side
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Olimala ennaku musanvu nga buli lunaku oweereza embuzi ennume ng'ekitambiro olw'ekibi, era oliweereza n'ente ennume ento n'endiga ennume okuva mu kisibo, zonna nga teziriiko kamogo.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
“Mulimala ennaku musanvu nga muwayo embuzi ennume emu buli lunaku ng’ekiweebwayo olw’ekibi. Era muliwaayo n’ente ennume n’endiga ennume, byombi nga tebiriiko kamogo.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Mu nnaku omusanvu onootegekerangamu buli lunaku embuzi okuba ekiweebwayo olw'ekibi, era onootegekanga ente envubuka n'endiga ennume eteriiko bulema eggiddwa mu kisibo.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Okumala ennaku musanvu, onootegekanga buli lunaku embuzi ey'ekiweebwayo olw'ebibi, era banaategekanga ente envubuka, n'endiga ennume ezitaliiko kamogo, ze baggye mu ggana.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Mu nnaku omusanvu onootegekerangamu buli lunaku embuzi okuba ekiweebwayo olw'ekibi era bategekenga ente envubuka n'endiga ennume eteriiko bulema eggiddwa mu kisibo.