Ezekiel 43:27 — Compare Translations
5 translations compared side by side
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Ennaku ezo nga bazimalirizza, ku lunaku olwomunaana n'okweyongerayo bakabona baliweereza ku mwaliiro ebitambiro byammwe ebyokye, n'ebitambiro eby'okussa ekimu. Olwo ndibasiima, Omukama Katonda y'agamba.”
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Oluvannyuma lw’ennaku ezo, okutandika n’olunaku olw’omunaana, bakabona baliwaayo ebiweebwayo byammwe ebyokebwa, n’ebiweebwayo byammwe olw’emirembe ku kyoto. Kale ndibasembeza, bw’ayogera Mukama Katonda.”
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Awo bwe balimala ennaku ezo, olulituuka ku lunaku olw'omunaana n'okweyongerayo, bakabona baweerengayo ku kyoto ebiweebwayo byammwe ebyokebwa n'ebiweebwayo byammwe olw'emirembe; nange ndibakkiriza, bw'ayogera Mukama Katonda.”
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Ennaku omusanvu bwe ziriggwaako, okuva ku lunaku olw'omunaana n'okweyongerayo, bakabona banaaweerangayo ku alutaari eyo ebiweebwayo byammwe ebyokebwa, n'ebiweebwayo olw'okutabagana. Olwo ndikkiriza okubaaniriza mwenna. Nze, Mukama Afugabyonna, njogedde.’ ”
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Awo bwe balimala ennaku ezo, olulituuka ku lunaku olw'omunaana n'okweyongerayo, bakabona baweerengayo ku kyoto ebiweebwayo byammwe ebyokebwa n'ebiweebwayo byammwe olw'emirembe; nange ndibakkiriza, bw'ayogera Mukama Katonda