Ezekiel 43:3 — Compare Translations
5 translations compared side by side
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Okulabikirwa kwe nafuna nga kuli ng'okulabikirwa kwe nafuna lwe yajja okuzikiriza ekibuga, n'okulabikirwa nga kuli okw'oku mugga Kebari; ne ngwa wansi ku maaso gange.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Okwolesebwa kwe nalaba kwali nga kuli kwe nalaba bwe najja okuzikiriza ekibuga, era ng’okwolesebwa kwe nalaba ku lubalama lw’omugga Kebali; ne nvuunama.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Era kyali ng'embala ey'okwolesebwa kwe nnalaba, ng'okwolesebwa kwe nnalaba bwe yajja okuzikiriza ekibuga, era okwolesebwa kwali ng'okwolesebwa kwe nnalaba ku lubalama lw'omugga Kebali, awo ne nvuunama amaaso gange.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Okulabikirwa kuno, kwali ng'okwo kwe nafuna, Katonda lwe yajja okuzikiriza Ekibuga Yerusaalemu, era nga kwe nafuna bwe nali ku lubalama lw'Omugga Kebari. Awo ne ngwa wansi, nga nneevuunise ku ttaka.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Era kyali ng'embala ey'okwolesebwa kwe nnalaba, ng'okwolesebwa kwe nnalaba bwe nnajja okuzikiriza ekibuga: era okwolesebwa kwali ng'okwolesebwa kwe nnalaba ku lubalama lw'omugga Kebali: awo ne nvuunama amaaso gange.