Ezekiel 43:5 — Compare Translations
5 translations compared side by side
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Mwoyo n'ansitula n'annyingiza mu luggya olw'omunda; ekitiibwa ky'Omukama ne kijjula Ekiggwa.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Omwoyo n’ansitula, n’andeeta mu luggya olw’omunda, n’ekitiibwa kya Mukama ne kijjula yeekaalu.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Omwoyo ne gunsitula ne gundeeta mu luggya olw'omunda; kale, laba, ekitiibwa kya Mukama ne kijjula ennyumba.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Ne wabaawo omwoyo ogwansitula, ne gundeeta mu luggya olwomunda, ne ndaba ekitangaala ky'ekitiibwa kya Mukama. Kyali kijjuzizza Essinzizo.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Omwoyo ne gunsitula ne gundeeta mu luggya olw'omunda; kale, laba, ekitiibwa kya Mukama ne kijjula ennyumba.