Ezekiel 43:7 — Compare Translations

5 translations compared side by side

Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
N'aŋŋamba nti: “Mwana w'omuntu, kino kye kifo kya nnamulondo yange era kye kifo ky'ebigere byange. Wano we nnaasula mu Bayisirayeli wakati emirembe gyonna. Ennyumba ya Yisirayeli teliddayo kwonoona linnya lyange ettukuvu; bo ne bakabaka baabwe tebaliddayo kulyonoona n'obwamalaaya bwabwe n'emirambo gya bakabaka baabwe ku bifo ebigulumivu.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
n’aŋŋamba nti, “Omwana w’omuntu, kino kye kifo eky’entebe ey’obwakabaka bwange, era ekifo eky’ebigere byange mwe nnaabeeranga wakati mu bantu ba Isirayiri emirembe gyonna. Ennyumba ya Isirayiri tebaliddayo kuvvoola linnya lyange ettukuvu, bo newaakubadde bakabaka baabwe, nga basinza emirambo gya bakabaka baabwe mu bifo byabwe ebigulumivu.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Awo n'aŋŋamba nti, Omwana w'omuntu, kino kye kifo eky'entebe yange, n'ekifo ebigere byange we birinnya, we nnaabeeranga wakati mu baana ba Isiraeri emirembe gyonna: so n'ennyumba ya Isiraeri terigwagwawaza nate erinnya lyange ettukuvu, bo newakubadde kabaka waabwe, olw'obwenzi bwabwe n'olw'emirambo gya bakabaka baabwe mu bifo byabwe ebigulumivu;
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Awo eyayogera n'aŋŋamba nti: “Ggwe omuntu, kino kye kifo ky'entebe yange ey'obwakabaka, era kye kifo we sigenda kuseguka. Wano we nnaabeeranga mu Bayisirayeli emirembe gyonna. N'ab'Eggwanga lya Yisirayeli, wamu ne bakabaka baabwe, tebaliddamu kuvumaganya linnya lyange ettukuvu, nga banvaako okusinza ebyo ebitali Nze Katonda, oba nga bakolera emirambo gya bakabaka baabwe ebijjukizo ebigulumivu.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Awo n'aŋŋamba nti Omwana w'omuntu, kino kye kifo eky'entebe yange, n'ekifo ebigere byange we birinnya, we nnaabeeranga wakati mu baana ba Isiraeri emirembe gyonna: so n'ennyumba ya Isiraeri terigwagwawaza nate erinnya lyange ettukuvu, bo newakubadde kabaka waabwe, olw'obwenzi bwabwe n'olw'emirambo gya bakabaka baabwe mu bifo byabwe ebigulumivu;