Ezekiel 43:8 — Compare Translations
5 translations compared side by side
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Bwe baazimba emiryango gyabwe okumpi n'emiryango gyange n'emyango gyabwe okumpi n'emyango gyange, nga kisenge kyokka kye kyawula nze ku bo, baayonoona erinnya lyange ettukuvu n'ebyenyinyalwa bye baakola; kyennava nsunguwala ne mbawemmenta mu busungu bwange.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Bwe baliraanya omulyango gwabwe okumpi n’ogwange, era n’emifuubeeto gyabwe okumpi n’egyange, ekisenge ekyereere nga kye kyawula nze nabo, bavvoola erinnya lyange ettukuvu n’emizizo gyabwe. Kyennava mbazikiriza n’obusungu bwange.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
nga bateeka omulyango gwabwe ku mabbali g'omulyango gwange, n'omufuubeeto gwabwe ku mabbali g'omufuubeeto gwange, ekisenge ekyereere ekyawula nze nabo; era bagwagwawazizza erinnya lyange ettukuvu n'emizizo gyabwe gye bakola, kye nnava mbamalawo n'obusungu bwange.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Baazimba embiri zaabwe, nga bateeka omulyango gwabwe n'omufuubeeto gwabwe ku mabbali g'omulyango gwange n'ag'omufubeeto gwange, nga kisenge busenge kye kyawula nze nabo, ne bavumaganya erinnya lyange ettukuvu olw'ebyenyinyalwa bye baakola, kyennava nsunguwala ne mbazikiriza.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
nga bateeka omulyango gwabwe ku mabbali g'omulyango gwange, n'omufuubeeto gwabwe ku mabbali g'omufuubeeto gwange, ekisenge ekyereere n'ekyawula nze nabo; era bagwagwawazizza erinnya lyange ettukuvu n'emizizo gyabwe gye bakola: kyennava mbamalawo n'obusungu bwange.