Ezekiel 43:9 — Compare Translations
5 translations compared side by side
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Kale nno kati banzigyirewo obwamalaaya bwabwe n'emirambo gya bakabaka baabwe, olwo nnaasula mu bo emirembe gyonna.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Kaakano baggyewo eby’obugwagwa byabwe, n’okusinza emirambo gya bakabaka baabwe, era babiteeke wala nange, nange naabeeranga wakati mu bo emirembe gyonna.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Kaakano baggyeewo obwenzi bwabwe n'emirambo gya bakabaka baabwe okuba ewala nange, nange nnaabeeranga wakati mu bo emirembe gyonna.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Kale kaakano balekere awo obutaba beesigwa, bakomye okusinza ebirala ebitali Nze Katonda, era baggyewo ebijjukizo by'emirambo gya bakabaka baabwe. Olwo nnaabeeranga mu bo emirembe gyonna.”
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Kaakano baggyeewo obwenzi bwabwe n'emirambo gya bakabaka baabwe okuba wala nange, nange naabeeranga wakati mu bo emirembe gyonna.