Ezekiel 44:10 — Compare Translations

5 translations compared side by side

Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
“ ‘Abaleevi abaneesuuba, luli Abayisirayeli lwe banjawukanako ne bagoberera ebifaananyi byabwe ebya balubaale, balyetikka omusango gw'ekibi kyabwe.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
“ ‘Naye Abaleevi abanvaako, Isirayiri bwe yakyama, ne bagoberera bakatonda abalala, balibonerezebwa.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Naye Abaleevi abanneesambira ddala, Isiraeri bwe yawaba, abaawaba okunvaako okugoberera ebifaananyi byabwe; abo balibaako obutali butuukirivu bwabwe.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
“Naye Abaleevi, abanneesambira ddala, Bayisirayeli bannaabwe bwe baawaba ne banvaako ne basinza ebifaananyi bya balubaale, balibonerezebwa olw'ekibi kyabwe.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Naye Abaleevi abanneesambira ddala, Isiraeri bwe yawaba, abaawaba okunvaako okugoberera ebifaananyi byabwe; abo balibaako obutali butuukirivu bwabwe.