Ezekiel 44:11 — Compare Translations

5 translations compared side by side

Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Banaabanga baweereza mu Kiggwa kyange; banaakolanga ogw'obuggazi ku miryango gyakyo; banaaweerezanga mu Kiggwa. Banattanga ebitone eby'ekitambiro ekyokye, ne batambira ku lw'abantu, era banaayimiriranga mu maaso gaabwe babaweereze.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Baliba baweereza mu watukuvu wange, nga balabirira emiryango gya yeekaalu, era ng’omwo mwe baweerereza; banattiranga abantu ebiweebwayo ebyokebwa ne ssaddaaka, era banabaweerezanga.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Era naye baliba baweereza mu watukuvu wange, nga balina okulabirira ku miryango gya Yeekaalu era nga baweerereza mu Yeekaalu; abo be banattiranga abantu ekiweebwayo ekyokebwa ne ssaddaaka, era banaayimiriranga mu maaso gaabwe okubaweereza.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Kyokka banaaweerezanga mu Kifo kyange Ekitukuvu nga balabirira emiryango gy'Essinzizo, era be banattiranga abantu ekiweebwayo ekyokebwa era n'ebitambiro, era banaabeerangawo okuweereza abantu.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Era naye baliba baweereza mu watukuvu wange, nga balina okulabirira ku miryango gy'ennyumba, era nga baweerereza mu nnyumba; abo be banattiranga abantu ekiweebwayo ekyokebwa ne ssaddaaka, eta banaayimiriranga mu maaso gaabwe okubaweereza.