Ezekiel 44:12 — Compare Translations
5 translations compared side by side
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Naye kubanga baabaweerezanga mu maaso g'ebifaananyi byabwe ebya balubaale, ennyumba ya Yisirayeli ne bagifuukira kyesittazo eky'ekibi, nange ndayira, Omukama Katonda y'agamba, bajja kwetikka omusango gw'ekibi kyabwe.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Naye kubanga baabaweerereza mu maaso ga bakatonda abalala, ne baleetera ennyumba ya Isirayiri okugwa mu kibi, kyendiva mbalayirira okubabonereza olw’ekibi kyabwe, bw’ayogera Mukama Katonda.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Kubanga baabaweererezanga mu maaso g'ebifaananyi byabwe ne bafuuka nkonge ey'obutali butuukirivu eri ennyumba ya Isiraeri; kyenvudde mbayimusizaako omukono gwange, bw'ayogera Mukama Katonda, era balibaako obutali butuukirivu bwabwe.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Naye olw'okuba nga baakulembera abantu mu kusinza ebifaananyi bya balubaale, ne baleetera ab'Eggwanga lya Yisirayeli okwonoona, Nze Mukama Afugabyonna kyenvudde mmalirira okubabonereza olw'ekibi kyabwe.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)