Ezekiel 44:13 — Compare Translations

5 translations compared side by side

Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Awo nno tebalinsemberera kumpeereza nga bakabona, yadde okusemberera ebintu byange n'ebitone byange ebitukuvu ennyo; basaanye bafe ensonyi olw'ebyenyinyalwa byabwe bye baakola.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Tebalinsemberera kumpeereza nga bakabona newaakubadde okusemberera ekintu kyonna ku bintu byange ebitukuvu, oba ebiweebwayo byange ebitukuvu ennyo; kubanga baakola ebiswaza n’eby’ekivve.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
So tebalinsemberera okukola omulimu ogw'obwakabona gye ndi, newakubadde okusemberera ekintu kyonna ku bintu byange ebitukuvu, eri ebintu ebisinga obutukuvu, naye balibaako ensonyi zaabwe n'emizizo gyabwe gye baakolanga.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Tebalinsemberera okukola omulimu ogw'obwakabona we ndi, wadde okusemberera ekintu kyonna ku bintu byange ebitukuvu, oba okuyingira mu Kifo Ekitukuvu ennyo. Baliswazibwa olw'ebyenyinyalwa bye baakola.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
So tebalinsemberera okukola omulimu ogw'obwakabona gye ndi, newakubadde okusemberera ekintu kyonna ku bintu byange ebitukuvu, eri ebintu ebisinga obutukuvu: naye balibaako ensonyi zaabwe n'emizizo gyabwe gye baakolanga.