Ezekiel 44:14 — Compare Translations

5 translations compared side by side

Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Naye nzija kubawa obuvunaanyizibwa ku mirimu gy'omu Kiggwa, ne ku kuweereza kwonna ne ku byonna ebikolebwamu.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Naye ndibalonda okuvunaanyizibwa emirimu gya yeekaalu, n’eby’okukola byonna ebiteekwa okukolebwa mu yo.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Era naye ndibafuula abakuumi ba Yeekaalu gye baliragirwa, olw'okuweereza kwamu kwonna n'olwa byonna ebirikolebwa omwo.”
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Newaakubadde ebyo biri bwe bityo, naye ndibafuula abakuumi b'Ekifo kyonna Ekitukuvu, abanaakolanga emirimu gyamu gyonna.”
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Era naye ndibafuula abakuumi b'ennyumba gye baliragirwa, olw'okuweereza kwamu kwonna n'olwa byonna ebirikolebwa omwo.