Ezekiel 44:15 — Compare Translations
5 translations compared side by side
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
“ ‘Bakabona Abaleevi, bazzukulu ba Zadoki, abaakola n'obwesigwa emirimu gy'omu Kitukuvu kyange luli Abayisirayeli lwe banjawukanako, bo ba kusembera bampeerezenga; bajja kuyimiriranga mu maaso gange, bampeereze ebitambiro eby'amasavu n'omusaayi, Omukama Katonda y'agamba.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
“ ‘Naye bakabona Abaleevi ne bazzukulu ba Zadooki, abavunaanyizibwa emirimu mu watukuvu wange n’obwesigwa, ng’abaana ba Isirayiri banjeemedde, balisembera okumpi nange ne bampeereza, era be baliyimirira mu maaso gange okuwangayo gye ndi amasavu n’omusaayi, bw’ayogera Mukama Katonda.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
“Naye bakabona, Abaleevi, batabani ba Zadoki, abaakuumanga awatukuvu wange nga bwe baalagirwa, abaana ba Isiraeri bwe baawaba okunvaako, abo be balinsemberera okumpeereza; era banaayimiriranga mu maaso gange, okuwangayo gye ndi amasavu n'omusaayi, bw'ayogera Mukama Katonda:
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
“Naye bo bakabona, abo Abaleevi abasibuka mu Zaddooki abaasigala nga balabirira Ekifo kyange Ekitukuvu, Abayisirayeli abalala bonna bwe beewaggula ne banvaako, abo be banansembereranga okumpeereza, era be banajjanga mu maaso gange okuwaayo gye ndi amasavu n'omusaayi eby'ebitambiro.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Naye bakabona, Abaleevi, batabani ba Zadoki, abaakuumanga awatukuvu wange nga bwe baalagirwa, abaana ba Isiraeri bwe baawaba okunvaako, abo be balinsemberera okumpeereza; era banaayimiriranga mu maaso gange, okuwangayo gye ndi amasavu n'omusaayi, bw'ayogera Mukama Katonda: