Ezekiel 44:16 — Compare Translations

5 translations compared side by side

Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Bokka be baliyingiranga mu Kitukuvu kyange; bokka be banaasembereranga emmeeza yange, baweerezenga mu maaso gange, bakole bye nkuutidde.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Abo bokka be banaayingiranga mu watukuvu wange, era be banaasemberanga okumpi n’emmeeza yange okumpeerezanga, n’okukuumanga ebyo bye mbalagira.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
abo banaayingiranga mu watukuvu wange, era banaasembereranga emmeeza yange okumpeereza, era banaakuumanga ebyo bye ndibalagira.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Abo banaayingiranga mu Kifo kyange Ekitukuvu, era banaasembereranga emmeeza yange ne bampeereza, era banaakuumanga bye ndibalagira.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
abo banaayingiranga mu watukuvu wange, era banaasembereranga emmeeza yange okumpeereza, era banaakuumanga ebyo bye ndibalagira.