Ezekiel 44:17 — Compare Translations

5 translations compared side by side

Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Bwe banaayingiranga mu miryango egy'omu luggya olw'omunda, bambalanga ebyambalo mu ngoye eza kitaani; tebassangako ngoye nkole mu byoya bya ndiga bwe banaabanga baweereza ku miryango egy'omu luggya olw'omunda ne munda mu Kiggwa.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
“ ‘Bwe banaayingiranga mu miryango egy’oluggya olw’omunda banaayambalanga ebyambalo ebya linena; tebateekwa kwambalanga byambalo bya byoya by’endiga, nga baweerereza mu miryango egy’oluggya olw’omunda ne munda wa yeekaalu.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Awo olunaatuukanga bwe banaayingiranga mu miryango egy'oluggya olw'omunda, banaayambalanga ebyambalo ebya bafuta; so tewaabenga byoya bye banaayambalanga bwe banaabanga nga baweerereza mu miryango egy'oluggya olw'omunda ne munda wa Yeekaalu.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Bwe banaayingiranga mu miryango gy'oluggya lw'Essinzizo olwomunda, banaayambalanga ebyambalo ebyeru. Naye tebaayambalenga byambalo byakolebwa mu byoya bya ndiga, bwe banaabanga baweereza mu luggya olwomunda, oba munda mu Ssinzizo.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Awo olunaatuukanga bwe banaayingiranga mu miryango egy'oluggya olw'omunda, banaayambalanga ebyambalo ebya bafuta; so tewaabenga byoya bye banaayambalanga bwe banaabanga nga baweerereza mu miryango egy'oluggya olw'omunda ne munda.