Ezekiel 44:18 — Compare Translations
5 translations compared side by side
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Beesibanga ebitambaala ebya kitaani ku mitwe gyabwe, era n'empale eza kitaani mu biwato byabwe, tebambalanga kintu kibatuuyanya.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Baneesibanga ebitambala ku mutwe nga bya linena, n’engoye ez’omunda nga za linena. Tebateekwa kwambalanga kintu n’ekimu ekibatuuyanya.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Banaabanga n'ebiremba ebya bafuta ku mitwe gyabwe, era banaayambalanga seruwale eza bafuta mu biwato byabwe; tebeesibenga kintu kyonna ekituuyanya.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Banaasibanga ebiremba ebyeru ku mitwe gyabwe, era banaayambalanga empale enjeru. Tebaayambalenga kintu na kimu ekituuyanya.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Banaabanga n'ebiremba ebya bafuta ku mitwe gyabwe, era banaayambalanga seruwale eza bafuta mu biwato byabwe; tebeesibenga kintu kyonna ekituuyanya.