Ezekiel 44:19 — Compare Translations

5 translations compared side by side

Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Bwe banaafulumanga okugenda mu luggya olw'ebweru abantu gye bali, beeyambulanga ebyambalo byabwe bye babadde baweererezaamu, era ba kubirekanga mu bigango ebitukuvu, ne bambala ebyambalo ebirala, ne batatukuza bantu na byambalo byabwe.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Bwe banaabanga bafuluma nga balaga mu luggya olw’ebweru eri abantu, banaayambulangamu ebyambalo byabwe bye baweererezaamu, ne babitereka mu bisenge ebyatukuzibwa, ne bambala engoye endala balemenga okutukuza abantu n’ebyambalo byabwe.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Awo bwe banaafulumanga mu luggya olw'ebweru, eri abantu, banaayambulangamu ebyambalo byabwe bye baweererezaamu, ne babitereka mu nju entukuvu, ne bambala ebyambalo ebirala, balemenga okutukuza abantu n'ebyambalo byabwe.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Bwe banaabanga bafuluma okugenda mu luggya olw'ebweru eri abantu, banaayambulangamu ebyambalo byabwe bye baweererezaamu, ne babitereka mu bisenge ebitukuvu, ne bambala engoye endala, ebyambalo byabwe ebitukuvu biremenga kukola kabi ku bantu.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Awo bwe banaafulumanga mu luggya olw'ebweru, mu luggya olw'ebweru eri abantu, banaayambulanga ebyambalo byabwe bye baweererezaamu, ne babitereka mu nju entukuvu, ne bambala ebyambalo ebirala, balemenga okutukuza abantu n'ebyanbalo byabwe.