Ezekiel 44:2 — Compare Translations

5 translations compared side by side

Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Omukama n'aŋŋamba nti: “Omulyango guno gujja kusigalanga nga muggale, si gwa kuggulibwanga, era tewali muntu wa kuguyingirirangamu, kubanga Omukama Katonda wa Yisirayeli mw'ayise okuyingira; gwa kusigalanga nga muggale.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Mukama n’aŋŋamba nti, “Omulyango guno gwa kusigalanga nga muggale. Teguteekwa kugulwanga newaakubadde omuntu yenna okuguyitangamu. Gwa kusigalanga nga muggale kubanga Mukama, Katonda wa Isirayiri yaguyitamu.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Awo Mukama n'aŋŋamba nti, “Omulyango guno guliggalwawo, teguliggulwawo so tewaliba muntu aliyingirira mu gwo, kubanga Mukama Katonda wa Isiraeri ayingiridde omwo; kye gunaavanga guggalwawo.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Awo Mukama n'aŋŋamba nti: “Omulyango guno gunaabanga muggale.Teguliggulwawo, era tewaliba muntu n'omu aliguyitamu okuyingira, kubanga Nze Mukama, Katonda wa Yisirayeli, nguyiseemu okuyingira, kyegunaavanga gusigala nga muggale.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Awo Mukama n'aŋŋamba nti Omulyango guno guliggalwawo, teguliggulwawo so tewaliba muntu aliyingirira mu gwo, kubanga Mukama Katonda wa Isiraeri ayingiridde omwo; kye gunaavanga guggalwawo.