Ezekiel 44:22 — Compare Translations

5 translations compared side by side

Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Tebawasanga bannamwandu oba abakazi abagobeddwa; wabula bawasanga bawala mbeerera abasibuka mu nnyumba ya Yisirayeli oba bannamwandu ba bakabona.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Tebateekeddwa kuwasa bannamwandu newaakubadde eyanoba, naye banaawasanga abawala embeerera nga ba lulyo lwa Isirayiri oba nga bannamwandu ba bakabona.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
So tebawasanga nnamwandu newakubadde eyagobebwa bba, naye bawasenga abawala abatamanyi musajja ab'oku zzadde ery'ennyumba ya Isiraeri, oba nnamwandu eyali muka kabona.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Kabona taawasenga nnamwandu, wadde mukazi eyanoba oba eyagobebwa bba, wabula awasenga muwala Muyisirayeli embeerera, oba nnamwandu w'eyali kabona.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
So tebawasanga namwandu newakubadde eyagobebwa bba: naye bawasenga abawala abatamanyi musajja ab'oku zadde ery'ennyumba ya Isiraeri, ba nnamwandu eyali muka kabona.