Ezekiel 44:25 — Compare Translations
5 translations compared side by side
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Kabona teyeeyonoonanga ng'agenda eri omulambo, naye singa abadde kitaawe oba nnyina, mutabani we oba muwala we, muganda we oba mwannyina atannafumbirwa, kabona ayinza okuleka ne yeeyonoona olw'okubeera bo.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
“ ‘Kabona taasembererenga mulambo aleme okweyonoonyesa, naye kitaawe bw’anaabanga y’afudde, oba nnyina, oba mutabani we oba muwala we, oba muganda we, oba mwannyina atafumbirwangako, kale aneeyonoonesanga.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
So tebasembereranga mufu yenna okweyonoonesa, naye olwa kitaabwe oba nnyaabwe oba mutabani waabwe oba muwala waabwe, olwa muganda waabwe oba mwannyinaabwe atabanga na bba, bayinza okweyonoona.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
“Kabona taasembererenga mufu n'omu kwefuula atali mulongoofu, okuggyako ng'omufu oyo kitaawe, oba nnyina, oba mutabani we, oba muwala we, oba mwannyina ataafumbirwa.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
So tebasembereranga mufu yenna okwegwagwawaza: naye olwa kitaabwe ba nnyaabwe oba mutabani waabwe oba muwala waabwe, olwa muganda waabwe oba mwannyinaabwe atabanga na bba, bayinza okweyonoona.