Ezekiel 44:27 — Compare Translations

5 translations compared side by side

Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Ku lunaku lw'aliyingira mu luggya olw'omunda olw'Ekitukuvu, ampeereze mu Kitukuvu, aweerezanga ekitambiro olw'ekibi kye, Omukama Katonda y'agamba.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Awo ku lunaku lw’anaalaganga mu luggya olw’omunda olwa watukuvu okuweereza mu watukuvu, aneweerangayo ekiweebwayo olw’ekibi, bw’ayogera Mukama Katonda.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Awo ku lunaku lw'anaayingiranga mu watukuvu, mu luggya olw'omunda, okuweerereza mu watukuvu, anaawangayo ekikye ekiweebwayo olw'ekibi, bw'ayogera Mukama Katonda.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
n'alyoka ayingira mu luggya lw'Ekifo Ekitukuvu olwomunda. Olwo anaawangayo ekikye ekiweebwayo olw'ebibi, n'alyoka addamu okuweerezanga mu Ssinzizo. Nze Mukama Afugabyonna, njogedde.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Awo ku lunaku lw'anayingiranga mu watukuvu, mu luggya olw'omunda, okuweerereza mu watukuvu, anaawangayo ekikye ekiweebwayo olw'ekibi, bw'ayogera Mukama Katonda.