Ezekiel 44:29 — Compare Translations
5 translations compared side by side
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Banaalyanga ebiweerezebwa olw'ekitone eky'obuwunga n'ebitambiro olw'ekibi n'olw'omusango, na buli kyonna mu Yisirayeli ekisingiddwayo enkomeredde nakyo kinaabanga kyabwe.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Banaalyanga ebiweebwayo eby’obutta, n’ebiweebwayo olw’ekibi, n’ebiweebwayo olw’omusango, ne buli kintu mu Isirayiri ekiwonge eri Mukama kinaabanga kyabwe.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Banaalyanga ekiweebwayo eky'obutta n'ekiweebwayo olw'ekibi n'ekiweebwayo olw'omusango; era buli kintu ekiwongebwa mu Isiraeri kinaabanga kyabwe.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Banaalyanga ekiweebwayo eky'emmere ey'empeke, n'ekiweebwayo olw'ebibi, n'ekiweebwayo okuba omutango olw'omusango, era buli kintu ekiwongebwa mu Yisirayeli kinaabanga kyabwe.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Baaalyanga ekiweebwayo eky'obutta n'ekiweebwayo olw'ekibi n'ekiweewayo olw'omusango; era buli kintu ekiwongebwa mu Isiraeri kinaabanga kyabwe.