Ezekiel 44:3 — Compare Translations
5 translations compared side by side
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Ye omulangira akyayinza okugutuulamu n'aliira mu maaso g'Omukama. Ajja kuyingiriranga awali ekisasi ky'omulyango era afulumire eyo.”
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Omulangira yennyini, ye yekka anaatulanga mu mulyango n’aliira mu maaso ga Mukama, era nnaayingiranga ng’ayita mu kkubo ery’ekisasi eky’omulyango, ne mu kkubo eryo mw’anaafulumiranga.”
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Omulangira yekka yanatuulanga omwo n'aliira emmere mu maaso ga Mukama; era anaayingiranga ng'ayita mu kkubo ery'ekisasi eky'omulyango, ne mu kkubo eryo mwaanaafulumiranga.”
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Omulangira ali mu buyinza, ye yekka, kubanga ye kabaka, anaatuulanga mu lukuubo lwagwo, okuliiramu ekijjulo mu maaso gange Nze Mukama. Wabula anaayingiranga ng'ayita mu kasenge k'ovaamu okuyingira mu luggya olw'ebweru, era mu kkubo eryo, mw'anaayitanga okufuluma.”
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Omulangira ye alituula omwo nga ye mulangira okuliiranga emmere mu maaso ga Mukama; aliyingira ng’afuluma mu kkubo ery'ekisasi eky’omulyango, ne mu kkubo omwo mw'anaayitanga ng'avaamu.