Ezekiel 44:30 — Compare Translations
5 translations compared side by side
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Byonna ebisinga mu bibala ebisooka byonna, ne mu byammwe eby'empooza n'ebya buli bitambiro byammwe, binaabanga bya bakabona. Era mubawanga n'ekitundu ekisooka eky'obutta omukisa gulyoke gubeere ku nnyumba yo.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Ebisinga obulungi ku bibala byonna ebisooka ebya buli kika n’ebirabo byonna eby’omuwendo binaabanga bya bakabona. Munaabawanga obutta bwammwe obwasooka okugoyebwa, omukisa gubeerenga ku nnyumba zammwe.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
N'ebisooka ku bibala byonna ebibereberye ku byonna na buli kitone ekya buli kintu ku bitone byammwe byonna binaabanga bya bakabona, era munaawanga kabona obutta bwammwe obugoyebwa obusooka, okutuuza omukisa ku nnyumba yo.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Ebisinga obulungi ku byonna bye musooka okukungula, ne ku byonna bye muwaayo gye ndi, binaabanga bya bakabona. Era munaawanga bakabona omugaati ogusooka okufumbibwa ku buwunga bw'eŋŋaano bwe mugoye, ne ndyoka mpa amaka gammwe omukisa.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
N'ebisooka ku bibala byonna ebibereberye ku byonna na buli kitone ekya buli kintu ku bitone nammwe byonna binaabanga bya bakabona: era munaawanga kabona obutta bwammwe obugoyebwa obusooka, okutuuza omukisa ku nnyumba yo.