Ezekiel 44:31 — Compare Translations

5 translations compared side by side

Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Bakabona si ba kulyanga ku buli kintu oba kalannamye oba ebitaaguju by'ekinyonyi oba ensolo.’ ”
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Bakabona tebaalyenga kintu na kimu, oba nnyonyi oba nsolo, ebisangiddwa nga bifu olumbe lwabyo nga byataagulwa nsolo.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Bakabona tebalyanga ku kintu kyonna ekifa kyokka newakubadde eyataagulwa oba nnyonyi oba nsolo.”
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Bakabona tebaalyenga nsolo oba nnyonyi efudde yokka, oba etaaguddwa ekisolo oba ekinyonyi.”
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Bakabona tebalyanga ku kintu kyonna ekifa kyokka newakubadde eyataagulwa oba nnyonyi oba nsolo.