Ezekiel 44:4 — Compare Translations

5 translations compared side by side

Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Ate n'ampisa mu mulyango ogw'emambuka, n'andeeta mu maaso g'Ekiggwa. Bwe natunula, ne ndaba ekitiibwa ky'Omukama nga kijjuzizza Ekiggwa ky'Omukama, ne ngwa wansi ku maaso gange.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Awo omusajja n’ankulembera ne tuyita mu kkubo ery’omulyango ogw’Obukiikakkono n’antwala mu maaso ga yeekaalu. Ne ntunula ne ndaba ekitiibwa kya Mukama nga kijjudde yeekaalu ya Mukama, ne nvuunama.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Awo n'antwala mu kkubo ery'omulyango ogw'obukiikakkono mu maaso Yeekaalu ne ntunula, kale, laba, ekitiibwa kya Mukama nga kijjudde Yeekaalu ya Mukama; ne nvuunama.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Awo omusajja n'ampisa mu mulyango ogw'omu bukiikakkono, n'antwala mu maaso g'Essinzizo. Bwe natunula, ne ndaba ng'Essinzizo lijjudde ekitangaala ky'ekitiibwa kya Mukama. Ne nneeyala ku ttaka nga nneevuunise.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Awo n'antwala mu kkubo ery'omulyango ogw'obukiika obwa kkono mu maaso g'ennyumba; ne ntunula, kale, laba, ekitiibwa kya Mukama nga kijjudde ermyumba ya Mukama; ne nvuunama amaaso gange;