Ezekiel 44:5 — Compare Translations

5 translations compared side by side

Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Omukama n'aŋŋamba nti: “Mwana w'omuntu, weetegereze, laba bulungi era wulira n'obwegendereza byonna bye nkunnyonnyola ebifa ku ntereeza y'omu Kiggwa ky'Omukama n'amateeka gaakyo gonna; weetegereze ennyingira y'omu Kiggwa n'enfuluma okuva mu Kitukuvu.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Mukama n’aŋŋamba nti, “Omwana w’omuntu, tunula weetegereze, owulirize bulungi era osseeyo omwoyo eri buli kye n’akugamba ku biragiro ebikwata ku nzirukanya ya yeekaalu ya Mukama. Tunula weetegereze bulungi awayingirirwa mu yeekaalu n’awafulumirwa wonna aw’Awatukuvu.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Awo Mukama n'aŋŋamba nti, “ Omwana w'omuntu tunula weetegereze nnyo, owulirize bulungi ebyo byonna bye nkugamba ku biragiro byonna eby'omu Yeekaalu ya Mukama n'amateeka gaayo gonna; era weetegereze nnyo awayingirirwa mu Yeekaalu na buli awafulumirwa mu watukuvu.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Mukama n'aŋŋamba nti: “Ggwe omuntu, weetegereze nnyo, otunule olabe, otege amatu owulire ebyo byonna bye nkugamba ku biragiro byonna, ne ku mateeka gonna ag'Essinzizo. Weetegereze nnyo omanye abakkirizibwa okuyingira mu Ssinzizo, n'abo abateekwa okugaanibwa okuyingira mu Kifo Ekitukuvu.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Awo Mukama n'aŋŋamba nti Omwana w'omuntu, weetegereze nnyo, otunule n'amaaso go era owulire n'amatu go ebyo byonna bye nkugamba ku biragiro byonna eby'omu nnyumba ya Mukama n'amateeka gaayo gonna; era weetegereze nnyo awayingirirwa mu nnyumba na buli awafulumirwa mu watukuvu.