Ezekiel 44:7 — Compare Translations
5 translations compared side by side
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Kubanga mwaleeta ab'amawanga abatali batayirire mu mutima ne mu mubiri ne mubayingiza mu kifo kyange ekitukuvu, Ekiggwa kyange ne mukijaajaamya ate eno nga bwe mumpeereza emmere, amasavu n'omusaayi; ne mumemya endagaano yange.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Ate n’okwogera ku ebyo ebikolwa byammwe eby’emizizo byonna, mukkiriza bannaggwanga, abatali bakomole mu mutima newaakubadde omubiri okuyingira Awatukuvu wange, ne boonoona eyeekaalu yange nga mmwe bwe mumpeerayo emmere, amasavu n’omusaayi ne mumenya endagaano yange.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
kubanga muyingizizza bannamawanga abatali bakomole mu mutima era abatali bakomole mu mubiri, okubeera mu watukuvu wange, okwonoonawo, ennyumba yange, bwe muwaayo emmere yange, amasavu n'omusaayi, era bo bamenye endagaano yange, okwongera ku mizizo gyammwe gyonna.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Mujaajaamizza Essinzizo lyange nga muyingizaamu abagwira abatali bakomole. Abantu abatakwata mateeka gange bayingira mu Ssinzizo, ng'amasavu n'omusaayi eby'ebitambiro biweebwayo gye ndi. Bwe batyo abantu bange ne bamenya endagaano yange, olw'ebyenyinyalwa byonna bye mukola.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
kubanga muyingizizza bannaggwanga abatali bakomole mu mutima era abatali bakomole mu mubiri, okubeera mu watukuvu wange, okwonoonawo, ennyumba yange, bwe muwaayo emmere yange, amasavu n'omusaayi, era bo bamenye endagaano yange, okwongera ku mizizo gyammwe gyonna.