Ezekiel 45:1 — Compare Translations
5 translations compared side by side
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
“ ‘Bwe mugabanyangamu ensi ng'obusika, mwawulizangako Omukama ekibanja ku nsi ng'ekitundu ekitukuvu, nga kya mikono emitwalo ebiri mu enkumi ttaano obuwanvu n'emikono emitwalo ebiri obugazi; kiriba kitukuvu okwetooloola eyo yonna gye kikoma.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
“ ‘Bwe muligabana ensi ng’omugabo gwammwe, musalangako ekitundu ekya Mukama ku nsi eyo, ky’ekifo ekitukuvu, obuwanvu mayilo munaana, n’obugazi mayilo mukaaga era ekifo kyonna kinaabanga kitukuvu.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
“Era nate bwe muligabana n'obululu ensi okuba obusika, muwangayo ekitone eri Mukama, omugabo gw'ensi omutukuvu: obuwanvu bwagwo buliba buwanvu obw'emmuli emitwalo ebiri mu enkumi ttaano (25,000), n'obugazi emitwalo ebiri (20,000), guliba mutukuvu mu nsalo yaagwo yonna okwetooloola.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Bwe muliba mugabana ensi nga muyita mu kukuba obululu, muwangayo ekitundu, ne mukiwongera Mukama, ne kiba kikye kitukuvu. Kiriba kya kilomita kkumi na bbiri n'ekitundu obuwanvu, ne kilomita ttaano obugazi. Ekitundu ekyo kyonna, kiriba kitukuvu yonna gye kikoma.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Era nate bwe muligabana n'obululu ensi okuba obusika, muwangayo ekitone eri Mukama, omugabo gw'ensi omutukuvu: obuwanvu bwagwo buliba buwanvu obw'emmuli obukumi bubiri mu enkumi ttano, n'obugazi kakumi: guliba mutukuvu mu nsalo yaagwo yonna okwetooloola.