Ezekiel 45:11 — Compare Translations

5 translations compared side by side

Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Efa ne bati bya kubanga bya kipimo kimu, bati ng'eweramu ekyekkumi ekya komeri, n'efa ekyekkumi ekya komeri. Komeri kye kinaabanga ekipimo kwe bigererwa.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Efa n’ensuwa binaabanga bya kigera kimu, ensuwa ng’egyamu eky’ekimu eky’ekkumi eky’ekomeri, n’efa ng’egyamu eky’ekimu eky’ekkumi eky’ekomeri, ng’ekomeri kye kigera ekikozesebwa.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Efa n'ensuwa bibenga bya kigera kimu, ensuwa egyemu ekitundu eky'ekkumi eky'ekomeri: ekigera kyayo kiba ng'ekomeri bw'eri.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
“Efa epima ebintu ebikalu, ebe nga yenkana ne baati epima eby'amazzi, nga homeri kye kipimo ekikulu ekyawamu. Efa ne baati, buli emu ebengamu kimu kya kkumi ekya homeri,
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Efa n'ensuwa bibenga bya kigera kimu, ensuwa egyemu ekitundu eky'ekkumi eky'ekomeri: ekigera kyayo kiba ng'ekomeri bw'eri.