Ezekiel 45:13 — Compare Translations

5 translations compared side by side

Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
“ ‘Ebitambiro bye munaawerezanga binaabeeranga bwe biti: Ekyomukaaga ekya efa okuva ku buli komeri ya ŋŋano, n'ekyomukaaga eky'efa okuva ku buli komeri ya sayiri.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
“ ‘Kino kye kirabo eky’enjawulo kye muliwaayo: kilo biri n’obutundu musanvu n’ekitundu ez’eŋŋaano, ne kilo bbiri n’obutundu bubiri n’ekitundu eza sayiri.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Kino kye kitone kye munaawangayo; ekitundu eky'omukaaga ekya efa ekiggibwa ku komero ey'eŋŋaano, era munaawanga ekitundu eky'omukaaga ekya efa ku buli komeri eya sayiri,
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
“Kino kye munaagobereranga nga muwaayo ebitone: munaawangayo kimu eky'omukaaga ekya efa ku buli homeri ey'eŋŋaano, ne ku buli homeri eya bbaale.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Kino kye kitone kye munaawangayo; ekitundu eky'omukaaga ekya efa ekiggibwa ku komero ey'eŋŋaano, era munaawanga ekitundu eky'omukaaga ekya efa ku buli komeri eya sayiri: